Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ssentebe wa Ggombolola y’e Mitete mu district y’e Ssembabule Ssenyonga Baker Byayi, asazeewo kwewanika waggulu kubimotoka ebirima enguudo n’okuwondera abo abazikola, okulaba nti bakolera abantu omulimu ogwetaagisa.

Baker Byayi Tumusanze ku Nguudo okuli oluva e Manyama okudda e Kalububbu ne Kibengo okwolekera Kinoni mu Lwengo, natutegeeza nga bwasazeewo okulima enguudo eziri mu byalo byonna 46 ezikola ggombolola eno, okwanguyiza abantu entambula n’okutambuza ebirime byaabwe okubituusa mu butale.
Wabula ono alaze obwennyamivu olwa Gavumenti obutabalowoozako olwa Ggombolola zeyatondawo nga teziwa nsimbi, n’akawanggamula nti ku nsimbi ezisoba mu bukadde 100 bwasuubira okukozesa mukulima enguudo za Ggombolola, bazesonda mu batuuze n’okusabiriza mu bantu ab’omutima omulungi, nga district yabawadde Byuma byokka amafuta beesonda meesonde okubitambuza.