Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ssentebe wa district y’e Lwengo Ibrahim Kitatta, awanjagidde abakulu abavunaanyizibwa kukuwozesa abasibe n’okusonjoola emisango mu kkooti mu Kitundu eky’e Masaka, okweekenneenya n’okukwata obulungi emisango naddala egyiva e Lwengo, begyikka mu vvi bavunaanibwe era baweebwe ebibonerezo ebibagwanira, kiyambeko okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka.

Ssentebe Kitatta alumiriza abakulu muby’okwerinda naddala Poliisi okukolagana obutereevu n’abamenyi b’amateeka naddala ababbi abitigomya Lwengo, nebakaabya abantu akayirigombe nga tewali abakuba ku Mukono, ekiviiriddeko n’ebikolwa eby’ettemu bingi ebiwaawazizza ennyo ensi, okwegiriisizza mu Lwengo ennaku eziyise.
Ebikolwa eby’obubbi bw’ebisolo omuli ente n’embuzi okuva mu bitundu bya Ggombolola nga Kyazanga, Malongo n’endala ezirimu abalunzi biri waggulu nnyo, nga Kitatta agamba nti wasaana okubaawo ekikolebwa okukomya kino, nti bwekitaba ekyo bandiyinza okulemererwa okukoma ku Batuuze baabwe kukukomya ebikolwa eby’okutwaalira amateeka mu ngalo, naddala bweba nga yengeri gyebalabye okwetaasa n’okukuuma ebyaabwe.
Akulira eby’okwerinda mu Lwengo era amyuka omubaka wa President mu Kitundu kino Robert Kambugu, yatubuulidde nti bali mukusala ntotto ku ngeri y’okutebenkeza Lwengo gyebakyali abapya.
