Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ssentebe wa District y’e Rakai Ssekamwa Kaggwa Samuel, alonze Munnabyanfuna Mpuuga David, okukulira Akakiiko akagaba emirimo, aka District Service Commission.

Ssentebe Ssekamwa Atutegeezezza ng’akakiiko kano bwekagenda okutuulako abantu Bataano, nti Kyokka abalala bakyeekennenyezebwa wabula nga yye Mpuuga amaze okukakasibwa olukiiko lwa District eno, oluvannyuma lwaba Kkansala okuyisa erinnyalye.
Mpuuga David Yasoma Byansimbi (Finance), ng’ono yafuna Degree y’ebyenfuna bino byeyakugukamu ku Ssettendekero wa Ndejje University mu Mwaka gwa 2001. Mpuuga ono Yavuganya kububaka bwa Palamenti okukiikirira Kooki Mu Kalulu akawedde, n’awangulwa Ninsiima Boaz Kasirabo Munna Kibiina Kya NRM Eyaakakulembera Kooki ebisanja Kati Bibiri.
Mpuuga yajja Kubwannamunigina Kyokka ng’ebipande bye byaliko Akabonero ka PEOPLE POWER ekisinde ky’ebyobufuzi ekikulirwa President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu. Mpuuga bano yabeegattako Oluvannyuma Lw’okuwangulwa mu Kamyufu ka NRM, gyeyava nga Yeekokkola Obutali bwenkanya bweyalaba mu Kibiina Ekyo.
Mu Mwaka gwa 2016, Mpuuga ono era Yaddukira Mu Kkooti enkulu e Masaka n’awakanya Obuwanguzi bwa Kasirabo mukulonda kw’omulundi ogwo, era Omulamuzi Lawrence Idudu N’akakasa Emivuyo egyekuusa kububbi bw’obululu, Effujjo n’okukozesa Emmundu Ssaako Okugulirira Abalonzi ebyali byetobese mu Kalulu ako, keyalagira kaddibweemu wabula Omubaka Kasirabo n’ajulira mu Kkooti e Kampala n’amegga Mpuuga era n’alagirwa aliyirire Kasirabo Obutitimbe bw’ensimbi zeyali asaasanyirizza mumusango.
Ssekamwa agambye nti Yeekakasa Obusobozi bwa Mpuuga, era amusuubira okukola Obulungi Omulimu gwamukwaasizza, ogw’okuyingiza n’okweekenneenya Abakozi ba District naddala Obumanyirivu n’obuyigirize bwaabwe, era nga Tamusuubiramu bikolwa byakulya Nguzi.
