Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Omubaka omukyala akyiikirira district y’e Ssembabule mu palamenti Mary Begumisa, awanjagidde abazadde obutesuulirayo gwa Nnaggamba ku nsonga z’okukuza obulungi abaana naddala ab’obuwala n’okubalambikanga ssaako okubasomesa, basobole okufuuka ab’omugaso.

Begumisa yasinzidde mu Ggombolola y’e Kyeera mu Ssembabule mukulambula abatuuze, n’eyennyamira olw’abaana abawala bangi abatazze ku masomero nga balekeddwa ttayo mu kyalo nga balalanga nga tebakyalinamu mpisa wadde eddiini, sso nga babeera basuubirwamu bingi mu maaso era nga baamugaso eri ensi yaabwe, ssinga babeera beteekateekeddwa bulungi n’okubasomesa.
Mu ngeri y’emu ne Rev.Fr.Andrew Kalema yasinzidde mukusoma Misa mu Klezia y’ekigo kya Centenary Ssembabule Parish eggulo, n’alaga obwennyamivu olw’abaana abatakyamanyi nakukuba Kabonero ka Musalaba olw’ebbanga lyemaze nebazadde baabwe ewaka, n’anenya nnyo abazadde okutambuliza abaana baabwe mu kkubo ery’ekizikiza, kyeyagambye nti kijja kubakosa era kibakaluubirizze nnyo obulamu mu maaso ssinga baanakula nga tebalambikiddwa bulungi mu ddiini, n’empisa ez’obuntubulamu.
