Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Kkooti e Masaka egobye emisango okuli ogw’okugezaako okutta, okulumya, okukola effujjo n’okwonoona ebintu, ssaako okutataaganya okulonda okw’akamyufu ka NRM egyali gyaggulwa ku Mubaka wa Lwemiyaga mu Palamenti Theodore Ssekikubo.

Ono azze avunaanibwa okuviira ddala mu Mwaka gwa 2011, ng’emisango gyino gyibadde gyireetebwa mu Kkooti bwegyongezebwayo, oluusi bwegyigobwa bwebagyongerayo, okutuusa olwaleero Omulamuzi Sylivia Nvannungi lw’asazeewo gyigobwe, ng’alumiriza oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta obujulizi enfunda eziwera nga n’engeri gyebakwatamu omusango eraga nti baagujjamu enta.
Ssekikubo abadde avunaanibwa Gavumenti n’abamu kubantu Ssekinnoomu, olw’ebibadde byamuteekebwako nti yeenyigira butereevu mukwonoona ebikozesebwa mukulonda, mu kamyufu ka NRM akaali e Lwemiyaga mu mwaka gwa 2010 mu Kiseera ng’akalulu ka bonna aka 2011 bwekaali kabindabinda. Ono era yateekebwako n’ogwokwenyigira mu ffujjo eryaviirako okulumya abantu n’abamu kutuuka kufiirwa bulamu bwaabwe, nga bino byonna Kkooti ebimujjeeko Olwaleero ng’egamba nti Omubaka yewuubye mu Kkooti enfunda eziwera okumala emyaka egy’enjawulo ekimwoononera obudde n’okumufiiriza obuvunaanyizibwa bw’alina okukyiikirira abantu be.
Ssekikubo abadde awolerezebwa munnamateeka we Alexander Lule, basanyukidde ensalawo ya Kkooti nebategeeza nti abaabajwetekako ebisango baali bagezaako kubalemesa buweereza abantu b’e Lwemiyaga bwebaamukwasa, olw’ensonga z’ebyobufuzi.
