Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Katikkiro wa Buganda Ow’ekitiibwa Charles Peter Mayiga, agumizza abaweereza b’obwakabaka mu Ssaza Mawogola, obutaggwaamu maanyi eri Abefunyiridde okunyaga ettaka lya Kabaka mu Ssaza lino, nti nebwebunaaba ddi bajja kulizza.

Katikkiro abadde atikkula ab’e Ssaza Mawogola oluwalo oluwezezza ensimbi ezisoba mu Bukadde 18 n’agumya Muteesa N’abaami ba Kabaka Abalala abava mu Kitundu kino obuteeraliikirira Kw’ebyo ebigenda mu Maaso, wabula Bakole namaanyi okuzzaamu abantu ba Kabaka essuubi, n’okulwana okubajja mu Bwavu.
Mukuwaayo Luwalo, banna Mawogola bakulembeddwaamu atwala Essaza lino Muteesa Muhammed Sserwadda asabye Katikkiro ne Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka Ow’ekitiibwa Joseph Kawuki, babalambuleko okubalunggamya naddala ku ngeri Y’okubbulula banna Mawogola mu bizibu ebingi mwebatubidde.
Muteesa yawerekeddwaako n’abakulembeze b’ebyobufuzi okuva mu bitundu by’e Ssembabule, okuli Omubaka Omukyala Mary Begumisa, Omubaka wa Mawogola South Gorret Namugga n’abalala. Olwaleero era Buganda lwejjukidde lwegyiweze emyaka 56 bukya Lugondamajja Obote Alumba olubiri lw’e Mengo n’amagye agaali gaduumirwa Idi Amin Dada, n’awanggangusa Ssekabaka Muteesa era nawera obwakabaka, nga wabaddeyo Okusabira obwakabaka buno Okubukalamu Emirembe, n’ebikolwa ng’ebyo obutaddamu kubalukawo Nate eri Namulondo.

