Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Mukusaba okw’okunyeenya Amatabi okukulembera okujaguza Amazuukira ga Yesu Christu e Ssembabule, Bwana mukulu w’eklezia y’e Kigo kya Centenary Parish-Ssembabule Rev.Fr.Alipio Kyambadde akubirizza abantu okukozesa ebiseera bino eby’okujjukira okubonyabonyezebwa kwa Yesu wakati mu Bitiibwa by’obwakatonda byeyalina okwekuba mu Mitima, beddeko ku bikolwa byaabwe, batambulire mu Makubo amagolokofu n’okubeera obumu nebannaabwe.

Fr.Kyambadde abadde akulembeddemu ekitambiro kya Misa olwaleero, n’avumirira ebikolwa eby’ekko omuli n’ettemu abantu mwebafiira mu ngeri eyakagenderere etategeerekeka bulungi, kwekusaba abakkiriza okussa ekitiibwa mu Musaayi gwa Yesu Christu ogwayiika olw’ebibi byaabwe, balongoose ebikolwa byaabwe n’okuwanggana ekitiibwa.
Ono era awabudde abantu naddala abalina obuyinza, abakulembeze n’abagagga okukomya okwegulumiza, wabula beyisenga mu ngeri y’obwetowaze n’obukkakkamu eri abalala, nga balabira ku Christu Yesu Kabaka wa ba Kabaka.