Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Amyuka President w’ekibiina kya Forum for Democratic Change-FDC, era nga ye Mmeeya w’ekibuga ky’eggwanga ekikulu Kampala Ssalongo Erias Lukwago ategeezezza nga bwebali kubwerinde, batambulira mukufa, era nga bali kubwa Katonda, bakeesa lukya nga Nkoko ya Mutamiivu olw’akabinja k’abatemu akabayigganya, bagaala kubatta era buli kiseera babatega obutwa!!

Lukwago okwogera bino, yasinzidde ku Kitebe kya FDC e Najjanankumbi eggulo, ku Kijjulo kyebaategese okusibuulula abasiraamu, n’ayogera kaati nti obulamu bw’abakulembeze nebannabyabufuzi ku ludda oluvuganya Gavumenti buli mukatyabaga, nti kubanga ekiseera kyonna balondoolwa, era babegezaamu okubatta, nga n’abamu baalozaako dda nti kubanga bazze bakoma ku mugo gwa ntaana olw’okubatega Kanywe okawulire.
Lukwago era yayambalidde banna Uganda ababalekera olutalo olw’okununula eggwanga, nga beeyisa ng’abalowooza nti balina abatono bebaasaddaakayo okubalwanira olwo bbo olutalo nebalwebalama. “Waliwo bangi abanggamba nti Mmeeya Temuzikiza, ekintu muba munaatera okukiggusa ate nemulegeza, mutwalwaanirire nnyo tufa” Newebuuza nti ffe mwatuwaayo nga Ssaddaaka tulwane mwe nga tewali kyemukolawo??” Omuloodi bweyategeezezza e Najjanankumbi eggulo.
Amyuka Ssabawandiisi w’ekibiina kino Arold Kaija, yennyamidde olw’abwavu obususse n’embeera y’ebintu ebyekanamye, n’ategeeza nti wadde basiibuludde abasiraamu naye baabadde basiiba olw’okubulwa kyebalya nga n’ekisiibo tekinnatandika, era bagenda mukisiibo kirala wadde ng’ekyomwezi omutukuvu ogwa Ramadhan kikomekkerezeddwa!!
Ku nsonga z’obutwa amyuka Vice President wa NRM atwala Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi, asabye wateekebwewo ekitongole ekinoonyereza ku nsonga z’obutwa nti kubanga zizze zogerwako nnyo mu ggwanga. Kiwanda ono era y’omu kubaali bayitiddwa Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga, bweyayogera nti eyali Speaker Oulanyah Yamutegeeza nti Yaweebwa obutwa, era ensonga n’azitegeezaako Omwogezi wa Gavumenti ya NRM Chris Balyomunsi. Ono era anokoddeyo amannya g’abamu kubannabyabufuzi n’abakulembeze ku Ludda Oluvuganya Gavumenti abazze beemulugunya ku nsonga z’okuweebwa obutwa, okuli Omubaka wa Municipaali y’e Mukono Betty Nambooze Bakireke, Hajji Hussein Kyanjo n’abalala nga bano bazze baddusibwa e Mitala wa Mayanja okuvumulwa.
